REFLECTIONS ON WISDOM
![]()
Amagezi Ssig'omu
Proverbial insights from the Baganda
![]()
Ssig'omu lye linnya lyetutuumye omuzingo gwaffe gunno omupya ogunaategekebwanga okufulumizibwa ku nnamutimbagano wensi yonna emirundi ena mu mwaka. Mu muzingo guno mwe tunayanjizanga ebyo byonna ebivude mu kunoonyereza n'okuyungulula kwaffe ku nsonga ezitali zimu. Olwo buli ayagala kimusobozese okubiwaako amagezi, okukolokota n'okuwanyisiganya ebirowoozo mu ngeri yekinnakiyivu nandiki okusinziira awo naakola okunoonyereza okulala kugaziye okumanya n'amagezi.
Erinnya 'Ssig'omu'
tulijje mu lugero lw'ekiganda olusonge oluggwayo nti:
Amagezi ssi g'omu (oba tegaba g'omu). Abaganda okufaananako n'abantu
abalala balina engero nnyingi ezikola nga ebifundikwa eby'okubulirira n'okuzimba
abantu ku nsonga z'amagezi ag'ensibo. Zino ze zimu ku ngero endala:
'Amagezi ag'omu gaalesa Magambo ku kubo';
'Amagezi gakuweebwa munno';
'Amagezi gandi ku mwoyo ng'omufuuyi w'engombe';
'Amagezi muliro bwe guzikira okima ewa munno'.
Ebitegeero ebiva mu lugero 'Ssig'omu' n'endala bwebali mu ttuluba bye bino wa mmanga:
i) Amagezi
gazimbibwa buzimbibwa si kitone kya muntu
ii) Tewali muntu amanyi buli kimu nga teyetaaga banne kumuyambako mu kuzimba amagezi
iii) Amagezi ssi kya bwanannyini wabula kya bugandaganyi
iv) Amagezi
kibumbujo; tegakoma, so tegatuulilwa kubanga obwejjuluzi obw'obulamu, embera
zaffe n'obwetoloole bwetulimu buli kaseera biba bibanja amagezi okugaziyizibwa
nga bwegakozesebwa.
v) Amagezi gazimbibwa ku mpagi y'obulongo
bw'okutegera n'okussaamu ekitiibwa okumanya n'amagezi eby'abanno.
vi) Amagezi tegazimbibwa mu kwekuumira awamu nga
olagajjalira okusaka amagezi amapya.
vii) Amagezi mpambo; okugaganyulwamu ogasiga
negalanda oba nogalandiza.
Wakati w'emyaka 1992-1994 waliwo okunoonyereza kwe twakola mu buvanjuba n'ebukiikaddyo bw'Africa nga twagala okuzuula engeri abantu aba bulijjo gyebaasobola okuyita mu myaka gye kinaana (1980s) ebyenfuna n'ebyenfuga webyagootanira ennyo. Ekimu ku byetwazuula kyali nti abantu aba bulijjo baali basaale mukukozesa ebitegeero ebyo okusobola okwanganga n'okuvvuunuka ebisomoozo by'okubeezawo obulamu bwabwe. Kino kyatuwa okuyiga kunene nti endowoza eyali emaamidde zi ssemasomero n'enkola za gavumenti nti amagezi agakulaakulanya ensi gaali mu bayivvu bokka; nolwekyo omuntu wa bulijjo yalina kulinda bulinzi ebinaamulaalikibwanga abisse munkola. Endowooza eyo y'emu ku byaleetawo akatyabaga k'emyaka gye kinaana. Abo abakilaba n'ebamanya nti ddala amagezi ssig'omu baalina okuddayo okwetegereza n'okuyigira ku magezi ag'abo abaali banyoomebwa nga omwo mwozingide n'amagezi ag'ennono agaali gasuliddwa ettale nga agaava edda ku mulembe.
SSIG'OMU: AN ONLINE JOURNAL OF THE MARCUS GARVEY PAN AFRICAN INSTITUTE (MPAI) Vol. I, No.1, 2005, Mbale, UGANDA